Job 22

Erifaazi Addamu

1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,

2 a“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?

4 b“Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 cOkwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 dKubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 eTewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 fwadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 gWeegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 hLwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?

12 i“Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 jAte n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 kEbire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 lBaatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 mBe bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 nAte nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 oAbatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 p‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’ 

21 q“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 rBw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 sn’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 tawo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 uDdala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 vOlimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 wAbantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 xAlinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
Copyright information for LugEEEE